Amawulire

Abavuganya kubwa pulezidenti 3 bakanyizza

Abavuganya kubwa pulezidenti 3 bakanyizza

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abesimbyewo ku bukulembeze bwe gwanga 3, bongedde okweyama okukolera wamu.

Kuno kuliko Robert Kyagulanyi owa NUP, Mugisha Muntu owa ANT ne Patrick Amuriat owa FDC.

Eyali pulezidenti wa FDC Dr. Besigye yabatabaganyizza, era basoose mu kafubo oluvanyuma nebogerako ne bananwmulire.

Obubaka bwabwe, awatali kwesalamu, basabye abalonzi okukuuma akalulu kaabwe.

Kati Kyagulanyi atadde ku nninga akakiiko kebyokulonda, nti kakwate bulungi okulonda kuno nobwegendereza, era bakole ekibasubirwamu.

Yye akulira ekibiina kya FDC, Patrick Amuriat Oboi agambye nti buvunayizibwa bwabalonzi okusigala ku bifo ebironderwamu, okumanya engeri obululu bwabwe gyebukwatiddwamu.

Ono ayogedde kungeri eyobukwambwe, gyebabadde bayisibwamu abakuuma ddembe, mu nnkau 60 eza kampeyini.