Amawulire
Abavuganya ku kifo kya Jinja East bamaze okusunsulibwa.
Bya Abubaker Kirunda.
E Jinja okusunsulamu abagenda okuvuganya ku bubaka bwa parliament obwa Jinja east kugenda mu maaso era nga abantu basatu bebakasunsulibwamu.
Asoose munsiike abadde munna FDC Paul Mwiru nekuddako agidde kubwanamunigina Faiza Mayemba olwo nemunna NRM Nethan Igeme Nabeeta n’agoberera .
Kinajukirwa nti ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwa kooti okugobayo Nethen igeme Nabeeta munna NRM bwekyakakasibwa nti yabba akalulu.
Akulira eby’okulonda e Jinja Rogers Sserunjogi agambye nti entekateeka zonna zikyatambula bulungi