Amawulire

Abavuganya bajulidde

Ali Mivule

August 2nd, 2013

No comments

mps bitter

Ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakwanze sipiika ekiwandiiko ekiwakanya okuwumuza banaabwe okumala entuula ssatu.

Akulira oludda oluvuganya Nathan Nandala Mafaabi agamba baagala sipiika asazeemu ekyasaliddwawo omumyuka we Jacob Oulanya  kubanga yakikoze mu bukyamu ekintu kyebatayinza kukiriza.

Mafabi alumirizza nga olanya bw’azze nga akola ensobi mu ntuula ez’enjawulo ekintu ekirina okukoma.

Ababaka bano era baweze okufuluma nga palamenti buli bwe wanabangawo ensonga eteesebwako nga tezimba ggwanga.

Ababaka abasatu abawumuziddwa nga kuno kwekuli   Odonga Otto, Theodore Sekikubo ne  Semujju Nganda.