Amawulire

Abavubuka bayombedde ssente mu kulonda kwomubaka waabwe

Abavubuka bayombedde ssente mu kulonda kwomubaka waabwe

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abavubuka okuva mu masekati ge gwanga, abakunganidde ku ttendekero lyabasomesa erya Mubende National Teachers College bavudde mu mbeera nebawakanya ssente emitwalo 53 egyabawereddwa okubayambako ennaku 3 zenagenda okumala eno, mu kulonda kwabavubuka.

Bano bagamba nti ssente zino ntono nnyo, waula kibakubye wala akakiiko kebyokulonda ate okubategeeza nti bagenda kubasasula mu bitundutundu.

Bano okwemulugunya baakutadise lunnaku lwe lwe ggulo, era okulonda bwekutandse olwaleero abavubuka nebatandika okukngula amaloboozi.

Akuliddemu okulondesa okuva mu kakiiko kebyokulonda Chris Namanya agambye nti babadde batesetese kubawa emitwalo 15 buli lunnaku 0nokubongeramu emitwalo 8.

Kati abantu 7 bebavuganya ku kifo kyomubaka wabavubuka mu masekati ge gwanga.

Kuno kuliko owa NRM Agnes Kirabo, Ivan Bwowe atalina kibiina mweyajidde, Abdul Ziritwawula naye talina kibiina, Javiira Kasumba owa FDC, Micheal Katongole talinakibiina, Simon Ssenyonga talina kibiina ne Alvin Ssemambya naye atalina kibiina.

Wabula okuvuganya okwamani abamu bagamba nti kuli wakati wa Agness Kirabo owa NRM ne Ivan Bwowe.