Amawulire

Abavubuka ba UYD bawadde gavt ennaku 5

Abavubuka ba UYD bawadde gavt ennaku 5

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekiwayi kyábavubuka bamusaayi muto mu kibiina kya DP aba Uganda Young Democrats (UYD)bawadde gavumenti ennaku 5 ngemazze okukwata era ekangavule abakuuma ddembe bonna abenyigidde mu bikolwa ebyókutyoboola eddembe lyóbuntu mu kunonya akalulu eri abesimbye okugenda mu maaso.

Kino kidiridde obukambwe bwa bakuuma ddembe obutasalako eri abawagizi ne bannamawulire abasaka amawulire ku bavuganya kuntebbe eyomukulembeze weggwanga

Nga nekikyasembyewo okubaawo ye poliisi okukakana ku bannamawulire okuli Ali Mivule owa NTV, Ashraf Kasirye owa Ghetto media ne Daniel Lutaaya owa NBS ne batusaako obuvune songa nómukuumi wa kwatidde ekibiina ki NUP bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Frank Ssenteza yavudde mu bulamu era kubigambibwa okuba obukambwe obwa poliisi.

Kati mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya DP mu Kampala, pulezidenti wa UYD, Ismael Kirya, agambye nti singa gavt eremererwa okuvaayo okukola ku basajja baayo bakwekubira enduuli eri sipiika wa palamenti

Ono ayagala ebikolwa ebyokulinyirira eddembe lya bannamawulire ne bali ku ludda oluvuganya kikome

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *