Amawulire

Abatuuze b’e Katwe west zone bekalakaasiza ensonga zattaka

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abatuuze b’e katwe mu west zone mu Kampala nga bakulembedwamu kansala waabwe Deo kasana bavudde mu mbeera ne beekalakaasa nga bawakanya ekya poliisi okukwata batuuze bannaabwe 2 okuli Grace Kakooza and Hajati Harima Namukasa nga bano bakwatibwa ku by’ekuusa ku kukuma omuliro mu batuuze beekalakaase

Kigambibwa nti abatuuze ku kyalo kino abasoba mu 300 bali mu kutya nti bandigobwa ku ttaka lyabwe oluvanyuma lw’omugagga ategerekese nga Mariam Sululu okuvaayo nategeeza nti yalina ekyappa ku ttaka kwe batudde

Abatuuze banenya poliisi okukolagana ne Sululu okwagala okubagobaganya ku ttaka lye bamazeko ebbanga lya myaka 20.

Bano bakumye omuliro mu kubbo erya Nsambya ring road ekivirideko jaamu okukwata ne kiwaliriza poliisi okuyingira mu nsonga.

Akwasaganya poliisi n’omuntu wa bulijjo  ku poliisi y’e katwe Hassan Katumba ayogedeko n’abatuuze bano n’abakakanya era n’abasubiza okuyimbula abakwate.