Amawulire
Abatuuze batabukidde poliisi ku kabuyonjo
Abatuuze ku gombolola ye Buyanga mu disitulikiti ye Busia batiisizza okwekalakaasa olw’abaserikale ba poliisi abatalna kabuyonjo nga babakalubiriza n’okukozesa ezaabwe.
Abatuuze balumiriza nti poliisi ye Buyanga tewali kabuyonjo olwo abaserikale bagenda mu zaabwe n’ekisinga okubanyiiza nti ekikwekweto ky’okukwata abatalina zi kabuyonjo mu kitundu bwekituuka, abaserikale bano bebawerekera ababakwata.
Wabula ye atwala poliisi eno Ben Osama ategezezza nti abatuuze baddembe okugenda mu maaso n’enteekateeka zaabwe okwekalakaasa kubanga bbo nga poliisi baliwo kukwasisa amateeka ssi kusima kabuyonjo.