Amawulire

Abataxi basabye Museveni abongereyo ennaku 3 batwale abantu mu byalo

Abataxi basabye Museveni abongereyo ennaku 3 batwale abantu mu byalo

Ivan Ssenabulya

June 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Abali mu ntambula eyolukale basabye omukulembeze weggwanga abongereyo ennaku 3 basobole okusabaza abantu abagenda mu byalo.

Ku sande pulezidenti Museveni yakkiriza abentambula eyolukale okusabaza abayizi abava ku masomero okudda mu byalo nga ekiragiro ekikugira emotoka zonna okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala nga tekinaluma

Muhammad Ssempijja kalondoozi wemirimu egikolebwa mu paaka ya taxi ya Namayiba, agambye nti yadde nga gavt yasazeewo okusabaza abayizi ku bwerere wabula abantu abalala abagenda mu baylo bayitirivu mu paaka songa emotoka ntono.

Ssempijja era agambye nti ekirowoozo kya pulezidenti okulwanyisa ekirwadde kya covid-19 kiyinza obutakola kuba abantu bangi nyo abeetumye mu paaka ezenjawulo balinze ntambula ne kunguudo.

Wano wasabidde bongerweyo ennaku 3 batambuze abadda mu byalo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *