Amawulire

Abatamatidde n’ebiragiddwa abakulembeze basobola okuloopa

Abatamatidde n’ebiragiddwa abakulembeze basobola okuloopa

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abantu babulijjo basabiddwa okwekubira enduulu ewa kalisoliiso wa gavumenti, bwebaba tebamatidde nebyobugagga abakulembeze baabwe byebanjudde.

Kino kibikuddwa minisita wempisa nobuntu bulamu Fr Simon Lokodo bweyabadde agenyiwaddeko wano, akakwungeezi ke ggulo.

Eno yabadde azze kunyonyola ku ntekateeka ya kalisoliiso wa gavumenti eyokwanja ebyobugagga.

Ssenkulu wekitongole ekirwanyisa obuli bwenguzi, Anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba akubye omulanga nti waliwo obwetaavu okuzukusa kooti eya leadership code tribunal oba akakiiko akawulira ensonga ezekuusa ku kwanja ebyobugagga.

Entekateeka yabakulembeze nabakozi ba gavumenti okwanjula ebyobugagga byabwe yatandise olunnaku lwe ggulo, nga yakukomekerezebwa nga 31 March wansi we tteeka lya leadership code Act.

Kati bwabadde ayogerako naffe, Kagaba agambye nti awatali kooti eno emirimu tejijja kutambula.

Mungeri yeemu, amyuka ssabawaabi wa gavumenti Richard Buteera agambye nti waliwo obwetaavu okubangul abawaabi ba gavumenti ku misango gyenguzi, bafune obukugu mu nsonga ezenjawulo okuviira mu kunonyereza.