Amawulire

Abassadaaka abantu bakuwanikibwanga ku Kalabba-Palamenti

Abassadaaka abantu bakuwanikibwanga ku Kalabba-Palamenti

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Palamenti eyisiza ebbago lye tteeka ku kussadaaka abantu erya Prevention and Prohibition of Human Sacrifice Bill, 2020.

Ebbago lino erilindiridde Omukulembeze weggwanga okuliteekako omukono litandike okukola ligufudde gwannagomola okussadaaka omuntu era bwegukuka muvvi oba wakuwanikibwa ku kalabba.

Omukubiriza wólukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Kadaga agambye nti ebbago lino lyakuyamba nyo okuwa obwenkanya eri abaana nga omugenzi Joseph Kasirye eyassadaakibwa omuggaga Kato Kajubi.

Omubaka we Ayivu county mu palamenti, Bernard Atiku eyaleeta ebbago lye tteeka lino mu palamenti agambye nti omuzze ogwokussadaaka abantu gwanyigiriza banauganda bangi kale ngekibonerezo ekyokuwanika omuntu kalabba agwenyigidemu kiba kigwanidde.

Abakaka abalala okuli ne minisita David Bahati, Baba Diri, na balala balina essuubi nti ebbago lino lyakukendeeza ku bikolwa ebyokussadaaka abaana na bantu abakulu.