Amawulire

Abasomesa beetondedde pulezidenti Museveni

Ali Mivule

October 11th, 2013

No comments

M7 fresh

Abasomesa kyadaaki bapondose nebetondera pulezidenti Museveni

Bano babadde basisinkanyeemu pulezidenti Museveni mu maka ge e Nakasero.

Pulezidenti ategeezezza nga gavumenti bw’ebadde mu kawefube w’okuyigga ensimbi ez’okubongeza omwaka ogujja

Pulezidenti akkirizza nti waliwo obuzibu bungi mu minisitule y’ebyenjigiriza nga waliwo abasasulwa omusaala mu bukyaamu kyokka nga kino kyakukolebwaako

Mu kusooka, akulira ekibiina ekigatta abasomesa, Margret Rwabushaija ayanjizza ensonga ezibaluma omuli omusaala omutono, amannya g’abamu obutaba ku nkalala z’abasasulwa n’endala nyingi

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *