Amawulire

Abantu mu bibinja 7 bebagenda okuyambibwa gavumenti

Abantu mu bibinja 7 bebagenda okuyambibwa gavumenti

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Olukiiko oluvunanyizibwa ku kulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe mu gwanga lyonna, nga lukubirizibwa Ssabaminista we’gwanga Robinah Nabbanja, olunnaku lweggulo lwakaksizza ebibinja byabantu 7 abali obubi abatekedde okufuna ku ssente ezokwedabulula mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Kuno kuliko aba saloon, abantu abattikka nokuttikula emigugu, abagoba ba taxi, abagoba ba boda boda neba maama ba nakyeyombekedde.

Abalala kuliko abavubuka abawangaliira mu migotteko.

Minisita owebyempuliziganya, sayansi nebyuma bi kalimagezi Dr. Chris Baryomunsi olunnaku lweggulo yategezezza nga gavumenti bwejja okusindika ssente ku masimu gabanatu oba okubafunira vouchers babeeko byebeguliiira okufuna byebalya.

Wabula ayagamebye nti ekiteeso kyokusindika ssente ku masimu gabant, tekinakaksibwa baakukitesaako, basalewo mu lutuula lwa kabineeti ku Bbalaza wiiki ejja.

Baryomunsi yagambye nti akakiiko akalala wansi wa minisitule yebigwa tebiraze nebibamba bebajja okuvaayo nolukalala lwabanatu abatekeddwa okuganyulwa.