Amawulire

Abantu babiri bafiridde mu bubenje

Abantu babiri bafiridde mu bubenje

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Poliisi e Mpigi ekakasizza ng’abantu 2 bwebaafiridde mu bubenje obwemirundi obwagudde mu kitundu ekyo.

Akabenje akamu kaagudde ku luguudo lw’ettaka oluva e Mitalamaria okudda e Gombe mu district y’e Butambala, ngemo mmotoka kika kya Coaster etambuza abayimbi ba Cream Production eya Hajji Harunah Mubiru bweyatomedde ekifunvu n’egwa.

Okusinziira ku omu ku bayimbi Adam Mulwana, omugoba wa Coaster yabadde ayise ku kkubo erigenda e Gombe ewaategekeddwa ekivvulu, wabula yayimiridde n’akuba reverse ku kaserengeto akaamanyi, bw’atyo emotoka nemulemerera n’akuba ekifunvu mmotoka n’egwa.

Omugenzi ye Umar Kasumba atenga abaalumiziddwa kuliko Jackie Namanda, Kemi Sera, omukubi w’ebivuga Katumba n’abalala nga baddusidwa mu ddwaliro e Gombe gyebafunira obujjanjabi.

Akabenje akalala kaagudde mu kitoogo ekimanyiddwa nga Kibukuta ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka taxi number UAV 811/Y bweyalemeredde omugoba waayo okukkakkana ngegudde neyeefuula.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Katonga Joseph Tulya, agambye wano omuntu omu yeeyafudde bweyabadde atuusibwa ku ddwaliro e Nkozi.

Omugenzi ategerekeseeko lya Nabuzaali, omwemyaka 25 omutuuze mu bitundu by’e Masaka nga kati omulambo gwe gukuumibwa mu gwanika ly’eddwaliro e Gombe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *