Amawulire

Abantu 7 bafiridde mu kabenje Jinja

Abantu 7 bafiridde mu kabenje Jinja

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisis ekakasizza nti abantu 7 bebafiridde mu kabenje ddeabusa akagudde e Jinja mu kiro ekikesezza olwaleero.

Akabenje kano kagudde ku kualo Igombe mu gombolola ye Buwenge ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala.

Akabenje kano kabaddemu emmotoka kika kya kabangali namba UBA 996/Z bwesabadde abantu bayoola ebikajjo, nga wabadde wakabaawo emmotoka endala namba UAK 344/V eyebikajjo ebadde egudde ekigwo era mu kitundu ekyo.

Omuddumizi wa poliisi mu bitundu bya Kiira North Henry Mugarura akaksizza nti omuwendo gwabafudde guli 7, okwawukana ku mauwlire agasoose, agabadde galaga nti abantu 10 bebafudde.

Akabenje kano akatadde ku kuvuga emmotoka eziri mu mbeera embi, nga kigambibwa nti mmotoka zino zibadde tezisiba

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *