Amawulire

Abanoonya obululu bakyasaggula

Abanoonya obululu bakyasaggula

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

Abawenja obululu okukulembera eggwanga lino bakyatalaaga ebitundu ebyenjawulo mu kawefube w’okuwangula emitima gy’abalonzi.

Pulezidenti Museveni leero asiibye mu bitundu bye Lango ng’eno gy’asinzidde n’asuubiza nti mu myaka gye etaano egijja, abayizi abawala bakufuna ebikozesebwa nga bali mu nsonga zaabwe ku bwereere

Obuzibu obusinze leero ebadde nkuba eyatattanye amakubo nga pulezidenti okutuuka mu bitundu ebitali bimu akozesezza bimotoka gy’amaggye ebirwaanyi.

 

E Luweero Kasana , abatuuze baguze eddagala nebooza enguudo okwaniriza Mbabazi nga bagamba nti abadde tasobola kuyita ku luguudo lwelumu pulezidenti Museveni kweyayita

E Wobulenzi, abawagizi beeyiye mu luguudo nga bakuba engoma n’okufuuwa emirere kko n’okuyimba enyimba ezimususuuta.

Ku lukungaana lwenyini, mwogezi ku mwogezi basabye NRM okulekera awo okuyita Luweero Mecca waabwe

Abantu obwedda baanuukula nga bagamba nti Luweero ssi mecca kubanga tebafiibwaako

Bano basanyusiddwa  abayimbi okubadde Walukagga era akayimba ke tekalese Mbabazi mu ntebe

Bino babaddewo yadde enkuba ebadde ya maanyi ddala.

Yye Dr Kiiza Besigye alozze enguudo gy’ayise e Kanungu olwaleero neyewuunya engeri gavumenti gy’emaze emyaka 30 ng’enguudo ziri mu mbeera eno.

Ono agambye nti enguudo nga zino zisinga kukosa balimi abatasobola kutunda bya maguzi byaabwe  olwo nebadondolwa abalina amamotoka

Yye eyesimbyeewo ku lulwe Joseph Mabirizi asabye akakiiko akalondesa okutwala abasirikale beyamuwa okumukuuma.

Kiddiridde ebigambibwa nti omukulu ono yawambiddwa ng’ali e Iganga

Mabirizi ng’ayogerako eri bannamwulire agambye nti abakuumi bano tabetaaga kubanga era tebamukuuma.

Awakanyizza n’ebigambibwa nti yewambye bwewambi.