Amawulire

Abamatendekero g’ebyemikono bazeemu okubanja gavumenti

Abamatendekero g’ebyemikono bazeemu okubanja gavumenti

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Amatendekero geby’emikono ag’obwannannyini, basabye gavumenti okubalowozaako, babawe ku mirimu gyokuguza gavumenti ebikozesebwa mu kutangira ssenyiga omukambwe.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire mu Kampala, bano balajanye nti bayita mu kusomozebwa kungi okuva amatendekero gaabwe lwegagagwa omwaka oguwedde, olwa ssenyiga omukambwe.

Bagambye nti balina obusobozi ngamatendekero geby’emikono okuguza gavumenti ebikozesebwa okuli masiki, ebidomola, sabuuni, nebirala byebekoledde basobole okuyingiza ku ssente.

Bano nga bakulembeddwamu Businde Samuel,  basabye gavumenti era okubaggulawo basomese abaana, okuziba omuwaatwa gwabakozi oguyinza okuberawo mu bakozi abakugu mu kiseera ekijja.

Agambye nti betaaga okuwa abaana bukugu mu kukanika, okutunga, n’emirimu emirala egyekikugu, kubanga basobola okusoma wakati mu kwewa amabanga n’okugoberera ebiragiro ku ssenyiga omukambwe.

Bano basabye omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyobulamu Dr. Diana Atwine obutagula bikozesebwa wabweru, naye babawe omukisa baguze gavumenti ebintu bino.

Businde ye mukulu w’ettendekero lya, Lady Aidah Computer Based Institute of Fashion Design and Technology era ye muyima w’ekibiina Uganda Association of Private Vocational Institutions.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *