Amawulire

Abalwanirizi béddembe bagala Dr Atwiine alekulire

Abalwanirizi béddembe bagala Dr Atwiine alekulire

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Abalwanirizi béddembe lyóbuntu basabye omuteesiteesi omukulu mu minisitule eye byóbulamu Dr Diana Atwiine alekulire ku bigambibwa nti yakwata bubi ensimbi ezaweebwayo mu kulwanyisa ekirwadde kya COVID.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, abalwanirizi be ddembe wansi wekibiina ki Human Rights Defenders Union Uganda nga bakulembedwamu Nana Mwafula, bategezeza nti newankubadde abagabi bobuyambi okuva ebweru bafubye okudukirira Uganda mu lutalo lwa covid wabula ensimbi eziweebwayo teziriko mbalirira ntuufu.

Ono agamba nti kino kyeyoleka omukulembeze weggwanga YK Museveni bweyalagira abakulu mu minisitule ye byobulamu okugula ebitanda okutuusibwa abali obubi 42,000 kyokka bbo ne bagulako 3,000 byokka.

Mwafula kati ayagala gavt eveeyo ewe embalirira ennambulukufu kunsimbi zefunye mu kulwanyisa covid okuvira ddala omwaka oguwedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *