Amawulire

Abalwanirizi be ddembe lya bakyala bagala Kadaga ayongerwe ekisanja lwa busobozi

Abalwanirizi be ddembe lya bakyala bagala Kadaga ayongerwe ekisanja lwa busobozi

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2021

No comments

File Photo:Omwogezi wa Palamenti ya uganda

Bya Prossy Kisakye,

Bankyewa wansi wekibiina, ki Forum for Women in Democracy bambalidde omukulembeze w’egwanga Yoweri K. Museveni n’abamu ku babaka ba palamenti abatadde akazito ku Rebecca Kadaga, okumulemesa okuvuganya ekisaja ekyokusatu nga sipiika wa palamenti.

Bwebabadde bogera ne bannamwulire mu Kampala, ba bagambye nti abantu ensonga zebawa mbu Kadaga aludde ku kifo kyomukubiriza wa palamenti teziriimu nsa, kubanga nabakulembeze abawa waggulu abalala, bangi abewangamya mu bifo bagaana okubivaamu.

Solome Nakaweesa, omu ku bakyala abegattira mu kibiina kino agambye nti gavumenti ejjuddemu basajja mu bifo ebigulumivu kalenga okusindikirza Kadaga okuva mu kifo watudde nakyo ssi kyabwenkanya.

Wano Nakaweesa, wasinzidde nakunga ababaka bonna naddala abakyala mu palamenti ey’omulundi ogwe 11 okuwagira Kadaga okulaba nti addamu okuwangula ekifo ekyo.

Olwokaano lwa sipiika lulimu abantu 4 abakavaayo okulaga obwagazi mu kifo kino, ku bano kuliko Kdaga nomumyukawe Jacob Oulanya, owa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda nowa  DP Richard Sebamala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *