Amawulire

Abalwanirira abantu abaliko obuzibu ku bwongo bavudeyo ku byókubatulugunya

Abalwanirira abantu abaliko obuzibu ku bwongo bavudeyo ku byókubatulugunya

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Abalwanirira eddemba lya bantu abaliko obuzibu ku bwongo basabye gavumenti eveeyo mangu enonyereze ku bikolwa ebigambibwa okuba nti abantu bano batulugunyizibwa nyo mu bifo gye bajanjabirwa.

Kino kidiridde omu ku balwadde bano ategerekese nga Mark Lesile Mudoola okufiira ku ddwaliro lye Butabika Hospital mu mwezi ogwokutaano mungeri etategerekeka ate newatabawo afaayo kumanya bweyafa.

Daniel Lubanga omukwanaganya wemirimu mu kibiina kya mental health Uganda, ategezeza bannamawulire nti ebikolwa nga bino kuba kulinyirira ddembe lya bantu bano

Ono agamba nti ebiseera bingi emisango egyekuusa ku kutyoboola eddembe lya bantu abalina obuzibu ku bwongo gilopebwa ku poliisi yadde tegiweebwa budde ku ginonyerezako.

Mungeri yemu atwala eddwaliro lya Butabika Hospital Dr Juliet Nakku agambye nti batadewo akakiiko akagenda okunonyereza kunsonga eno mu bwangu

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *