Amawulire

Abalwadde ba Ssukaali nab’embuto balabuddwa ku COVIDEX

Abalwadde ba Ssukaali nab’embuto balabuddwa ku COVIDEX

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Pharmaceutical Society of Uganda balabudde abantu abalina ekirwadde kya ssukaali nabakyala abembuto, ku kumala gakozesa eddagala lya COVIDEX eryaaksiddwa ekitongole kyeddagala ekya National Drug Authority okukozesebwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.

Dr Pamela Achii, pulezidenti owa Society agambye nti waddenga mu ddagala lino mulimu ebirungo ebirwanyisa obuwuka mu kika kya Virus bingi abakugu byebatanaba kuweteereza bulungi ku nkola yalyo.

Mu mbeera eno agambye lyandibeera eryobulabe eri abalwadde ba ssukaali neba maama abembuto.

Okusinziira ku Prof Patrick Ogwang, omusomesa ku ttendekero lya Mbarara University Faculty of Pharmacy eyakoze eddagala lino, mu COVIDEX mulimu ekirungo kya bebeerine era okuva mu muddo.

Dr Achii era alabudde ku kukozesa eddagala lino mu bungi, nti kyandivaako okulikozesa obukyamu ate nekikosa obulamu bwabantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *