Amawulire

Abalwadde ba COVID-19 badduse mu ddwaliro e Mityana

Abalwadde ba COVID-19 badduse mu ddwaliro e Mityana

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abalwadde ba COVID-19 babiri badduse mu ddwaliro ekkulu e Mityana gyebabadde bajanjabirwa.

Kino kibikuddwa omwogezi we’ddwaliro lino Edward Muganga, wabula tayogedde mannya gaabwe nebirala ebibakwatako.

Agambye nti omu abadde ava mu bitundu bye Wabigalo mu divizoni ye Tamu atenga omulala abadde yava mu disitulikiti ye Kassanda.

Wabula kyennaku, omulwadde eyadduse owe Wabigalo yamaze naafa.

Amyuka omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Mityana Yasin Ndidde nga yakulira akakiiko akalwanyisa ssenyiga omukambwe agambye nti bakola bukubirire okuzuula ebifo bano gyebava.

RDC asabye abantu okubabagulizaako, kubanga bekukuma mu bitundu byabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *