Amawulire

Abalumwa enjala beyongedde

Abalumwa enjala beyongedde

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuwendo gwabantu abalumwa enjala mu nsi yonna gulinnye, ng’olukalu lwa Africa lwelusinga okubeera mu kabi abantu okufa enjala.

Bino byajidde mu alipoota yekibiina kyamawanga amagatte ekwata ku bungi bwe mmere, gyebatuumye State of Food Security and Nutrition in the World, oluvanuma lwokunonyereza okwawamu kwebakoze nebitongole okuli FAO, IFAD, WHO, UNICEF ne WFP.

Abantu obukadde 820 bebazuulwa nga bayala mu mwaka gwa 2018, atenge emiwendo gisubirwa okulinnya okutuuka mu bantu obuwmbi 2 abetaaga emmere.

Ebitundu ebiralala ebisnze okulumbibwa enjala kuliko North America ne Europe, nga 8%.’

Muno era banokoddeyo endya embi evaako omugejjo gejjo mu bantu, ekiteeka obulmu bwabwe mu kabi okufa ebirwadde.

Carlo Petrini presidenti owa Slow Food International akubye omulanga nti bingi ebyetaaga okukolebw, okuvaayo namakubo agokwongera ku bungi bwemmere mu nsi okulwanyisa enjala.

Alipoota eno yayanjuddwa ku kitebbe kya UN mu kibuga New York, mu gwanga lya America, ngera yalaze nti abaaana bebasinze okukosebwa enjala.