Amawulire

Abalongo ba nabansasana bafudde

Ali Mivule

October 1st, 2013

No comments

 

twins

Abalongo ba nabansasaaana abazaaliddwa e Mbarara bafudde.

Abalongo bano babadde balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu.

Maama waabwe Anabella Kansiime yagaanye eby’okukyuusa abaana bano okubazza e Mulago era nga kino kyekyalemesezza eb’eddwaliro okubaako nekyebakola.

Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti abaana bano babadde ba bingi ebitambula bulungi mu mibiri gyaabwe era nga bamaze nebabalemererwa era okukkakkana nga bafudde

Bano beebalongo ab’okuna okuzaalwa mu Uganda mu bbanga lya myaka ng’ebiri.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *