Amawulire

Abalinaanye ekkumiro ly’ebisolo bawakanyizza okusima amafuta

Abalinaanye ekkumiro ly’ebisolo bawakanyizza okusima amafuta

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole kya UNESCO ne bannamikago abalala, basabiddwa nti bogerezeganye ne gavumenti ya Uganda ne kampuni zamafuta obutayikuula ekifo kyekkumiro lyebisolo ekya Queen Elizabeth National Park neku Nyanja Edward.

Omulanga guno gukubiddwa aba Coalition of Women and Youth clean energy mu kitundu kye Virunga Landscape.

Kino kyadirirdde gavumenti okuggulawo okuvuganya ku layisinsi, eri kampuni ezinetaba mu kuyikuula amafita mu mu kitundu kye Ngaji munda mu kkumiro lyebisolo erya QENP neku Lake Edward.

Mu bbaluwa gyebawandikidde gavumenti ne kampuni zamafuta, abantu abetolodde ekifo kino mu Uganda nemu gwanga lya Democratic Republic ya Congo bagamba nti banaaba basigadde mu bbanga kubanga okusanyawo ebifo ebyo ssi kirungi.

Bagamba nti obulamu bwabwe buyimiridde ku bifo ebyo mu mbeera zebyenfuna, webasinziira okulembeka okubaako kyebayingiza mu nsawo zaabwe.

Abantu bababulijjo wamu neba nakyewa basabye ebitongole ku mutendera gwensi yonna, okuli UNESCO okuyingira mu nsonga eno.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *