Amawulire

Abaliko obulemu nábakadde bagala kufuna kunsimbi z’omuggalo

Abaliko obulemu nábakadde bagala kufuna kunsimbi z’omuggalo

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira abantu abaliko obulemu mu ggwanga ki National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) kisabye gavumenti okuteeka abantu abaliko obulemu ku lukalala lwabo abagenda okufuna ku nsimbi za gavt ezobuyambi mu mbeera eyomuggalo.

Bano okuvaayo nga entekateeka ezokuwandiisa abalina okufuna kunsimbi zino mu bibuga ne municipaali zitandise.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, sentebe wekibiina kino Bumali Mpindi asabye gavt okulowooza ku baliko obulemu kungeri gye banayita mu nnaku 42 ezomuggalo.

Abantu omuli abavubuka, abagoba ba taxi ababoda, nábalala bebamu kubagenda okufuna emitwalo 10 buli maka zibayambe okugula emmere mu nnaku 42 nga tebakola.

ate Olukiiko lwabakadde mukitongole ki KCCA olwa Kampala Capital City Elders Council nga lukulembedwamu Ssentebe wabwe Francis Anthony Lubowa,luvudeyo nelwewunya Gavumenti ya Uganda olwobutafayo ku bantu baayo abakuliridde mumyaka naddala mukiseea kino ekyekimbe Kya Covid-19.

Abakadde bano okuvaayo bwebati kidiridde obutalabikira kulukalala lwa Gavumenti lweyafulumiza eri abo abagenda okuganyulwa mu nsimbi ezomuggalo kye bagamba nti basosoddwa.

Lubowa ategezeza bannamawulire nti mu Kampala Mwoka mulimu abakadde emitwalo 31000, abetaaga obuyambi okuva mu Gavumenti nga muyuganda yona mulimu abakadde obukadde 5,000,000.

Kati bagamba nti bweba Gavumenti ebalaba nga bamugaso era nge kyabetaaga nabo bagatibwe kunkalala zabantu abagenda okufuna kunsimbi Gavumenti zegenda otandika okuwa bannansi okutandika nga omwezi guno.