Amawulire

Abaliko Ababaka bali mu mbeera mbi

Abaliko Ababaka bali mu mbeera mbi

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2021

No comments

Bya BenjaminJumbe ne Ritah Kemigisa

Gavumenti esabiddwa okulowooza ku baliko ababaka ba palamenti okubawaayo ettu.

Bwebabadde mu kukubaganya ebirowoozo, okwejukanya ku mirimu gya palamenti eyawezezza emyaka 100, omubaka wa Bunyole West James Waluswaka agambye nti ababaka abakiika wakati wa 1986 ne1996 wetwogerera nga bakadde nnyo era abasing bawangaliira mu bwavu bubafumukakao nga vvu.

Agambye nti waliwo obwetaavu kino gavumenti okukirowozaako, babadukirire.

Yye omubaka we Kasilo Elijah Okupa ajjukizza omukulembeze we gwanga ku bweyamu bweyakola ku nsonga eno, okubaako ettu lyawa abaliko ababaka mu palamentoi ezasooka.

Ate omubaka omukyala owa disitulikiti ye Soroti, Angelina Osege asomozza palamenti nti wakyaliwo obwetaavu okukola ennyo okukyusa ekifanayi kyabwe mu bantu.

Bino byebimu ku byateseddwako akawungeezi, mu kwejjukanya emyaka 100 egyokuberawo kwa palamenti, essiga eribaga amateeka.

Omubaka Osege, yagambye ni kimalamu amaanyi kubanga abamu ku banatu babulijjo palamenti bajitunuliira ngekitongole ekyebyobusubuzi era abantu mwebagenda okukytula diiru.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *