Amawulire

Abalamuzi 2 bagaanye okuwuliriza omusango gwa Bobi

Abalamuzi 2 bagaanye okuwuliriza omusango gwa Bobi

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi 2 Esta Nambayo ne Musa Ssekaana bagaanye okuwuliriza omusango, ogusaba okuyimbulwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne mukyala we Barbra Kyagulanyi Itungo.

Bano mu nsonga zebawadde, bagambye nti tekijja kulabika bulungi, kubanga baali bawuliddeko dda emisango era ejirimu Kyagulanyi nekibiina kya NUP.

Bagamby nti abamu bandikitwala nga kyekubiira.

Bannamateeka bekibiina kya National Unity Platform, olwaleero bakedde kuddukira mu kooti nga bagala ekake ssabawolereza wa gavumenti, omuddumizi wamagye ge gwanga ne Ssabapoliisi we gwanga okuleeta omuntu waabwe mu kooti, eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu ne mukyala we nga balamu obanga bafu.

Mu mpaaba gyebatadde mu kooti enkulu nga bakulembeddwamu Anthony Wameli ne Geoffrey Turyamusiima bagala kooti eyise ekiragiro ekireeta abantu bano kubanga bamaze ennaku nga tebalabwako.

Bano bagamba nti omuntu waabwe yasemba okulabwako ku lunnaku lwokulonda, ngokuva olwo kyebawulira nti agaggaliddwa mu maka ge e Magere, abamagye ne poliisi tebakiriza muntu yenna kugendayo.

Bannamateeka bagamba nti kino kimenya mateeka era kulinyirira ddembe lye eryobuntu, kubanga tebakiriza bannamateeka be nabasawo be okumulaba, kati okumala ennaku eziwerako.

Mu musango guno era bagala waberewo gavumenti okuliwa olwengri gyebakosezaamu omuntu waabwe Kygulanyi.

Kati oluvanyuma munnamateeka Anthony Wameri, atubuliidde nti omusango guwereddwa, omulamuzi Mike Erubu, yagenda okubawa olunnaku.