Amawulire

Abakyala babbaabwe abasibwa bekubidde enduulu

Abakyala babbaabwe abasibwa bekubidde enduulu

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2021

No comments

Bya Derick Wandera,

Abakyala abalina babbaabwe abawagira ekibiina kya NUP abasibwa ne bagaanibwa okubalaba bekubidde enduulu mu Kkooti eyékinnamaggye ebakirize balabe abantu baabwe.

Bano nga bakulembedwamu akulira ekiwayi kyábakyala mu NUP Flavia Nabagabe Kalule, abuulidde bannamawulire nti bukya bantu baabwe basibwa bakyala baabwe tebabakubangako kimunye ekintu ekikontana namateeka

Ono agamba nti abasajja abali mu nkomyo abamu baleka bakyala baabwe nga bali mbutto nga kati tebalina nsimbi zi batwala kunywa ddagala, abalala bebaali banonya ekyokulya kya famile ekivirideko abakyala okunyigirizibwa enyo