Amawulire

Abakyakozesa ba Crime Preventer Balabuddwa

Abakyakozesa ba Crime Preventer Balabuddwa

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2019

No comments

Bya Ndaye Moses

Ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola alabudde basajja be abaddumira poliisi mu bitundu bye gwanga ebyobwagagavu, bakomye okukozesa, ba crime preventer ku poliisi zebatwala.

Bwabadde aggulawo olusirika lwa RPC olugenda okulungula ennaku 4 ku ttendekero lya poliisi e Bwebajja, Ochola agambye nti abantu bano, bebaali bakozesa okuziyiza obumenyi bwamateeka, ku byalo, kati baasindikibwa mu gye lye gwanga ezibizi.

Agambye nti bonna abakyabakozesa bakikola mu nsobi kalenga yenna gwanakwatako waakukangavvulwa.

Kinajjukirwa omwaka oguwedde omukulembeze we gwanga yalagira, ba crime preventer basindikibwe wansi wamagye ge gwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *