Amawulire

Abakuumi bakwatiddwa olw’okubbira ku bbanka

Abakuumi bakwatiddwa olw’okubbira ku bbanka

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu district ye Masaka eriko abakuumi 2 bekutte lwakubba ba customer abawerako okuva mu post bank ne Centenary bank ku byuma bya ATM.

Abakwate kuliko John Mugume owemyaka 30 ngono abadde mukuumi ku wofiisi za lands e Masaka, ngakola nekitongole ekikuumi ekyobwnanayini ekya Saracen Uganda Limited ne munne Sylvia Nassuuna owemyaka 25 ngabadde akuuma ku Centenary Bank ettabi ery’eKyabakuza ngakola ne Security Group Africa.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Paul Kangave agambye nti bano baabakutte nga beyambisa camera ezibeera mu bank zino.

Kangave wano wasinzidde naalabula ba customer bonna obutaddamu kwesiga bakuumi ba bank nga bagenze okujjayo ssente.

Omusasi waffe bwagezezaako okukunya abakwate nga asinziira ku butambi bwalabyeko beganye nga bagamba nti babawaayiriza olw’ensonga nti bo bawa zi loan bakozi banabwe.

Bano kati bagenda kuvunaanibwa omusango ogw’obubbi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *