Amawulire

Abakungu ba disitulikiti 4 bakwatiddwa

Abakungu ba disitulikiti 4 bakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’eAbim eriko abakungu baayo 4 begombeyemu obwala ku bigambibwa nti benyigidde mu kubba ebintu bya disitulikiti

Mu byabbiddwa kwabadeko jenereta, soola pano n’amabaati nga byonna bibalirirwamu omugate gwa bukadde bwa nsimbi za kuno 500

Okusinzira kwaddumira poliisi mu disitulikiti eno Robert Katuramu asirikidde amaanya ga bakwate, bano bagenda kutwalibwa mu kkooti bagulweko emisango gy’obubbi n’okukozesa obubi yaffeesi.

Bano okukwatibwa kyadiridde abatuuze okutemya ku poliisi oluvanyuma lw’okubalaba nga bakukusa ebintu ebibadde birina okukola ku mulimo gw’okubunyisa amazzi mu disitulikiti.

Wabuka Katuramu agamba nti basobodde okufunako soola pano n’amabaati bye basanze mu lira nga kati jenereta gye bakyayigga.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *