Amawulire

Abakulembeze ba bagoba ba bodaboda basabye Gavt ebayambe ku piki zaabwe

Abakulembeze ba bagoba ba bodaboda basabye Gavt ebayambe ku piki zaabwe

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze ba bagoba ba Boda boda mu Kampala basabye gavumenti eragire abakulu bebyokwerinda okulagira pikipiki ezakwatibwa mu ssabiitiewedde zidizibwe banyinizo awatali bukwakulizo.

Mu ssabiiti ewedde wakati mu kwetegekera emikolo egyokulayira kwomukulembeze weggwanga Yoweri Museveni, poliisi yayisa ebiragiro byokunguudo mweyagaanyira aba booda obutatuuka mu bittundu ebimu.

Wabula abakulembeze ba bagoba ba Bodaboda bagamba piki zabanaabwe ezisoba mu 10,000 zakwatibwa nga nnessaawa ya kafyu tenatuuka ekyabaleka nga tebalina mirimu.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala bano bagamba bagezezaako okununula piki zino wabula poliisi ebasaba ensimbi mpitirivu ate abamu ku bannabwe bagulwako emisango gye bataza.

Bano nga bakulembedwamu James Lutaaya, akulira ekibiina kya Mpererwe Tura Road Boodabooda Association, Ausi Muwaya Makindye okuva e Makindye ne Bosco Kalungi ssabawandiisi we kibiina kya bagoba ba bodaboda e Makindye kati Bagala gavt eragire poliisi ebadize piki zaabwe basobole okwekolera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *