Amawulire

Abakozi ba gavt abasoba mu 4000 bakukangavulwa lwa butanja byabuggaga byabwe

Abakozi ba gavt abasoba mu 4000 bakukangavulwa lwa butanja byabuggaga byabwe

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Yaffeesi ya kaliisoliiso wa gavumenti etandise kuntekateeka eyokuvunaana abakozi ba gavt ne bannabyabufuzi abagaanye okwanja ebyobugagga byabwe omwaka guno okusinzira ku tteeka nga bweriragira.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, amyuka kaliisoliiso wa gavt, Mariam Wangadya agambye nti abakulembeze ebitundu 83.11% bebasobodde okwanja ebyobugagga byabwe wenatukidde ennaku zomwei 23rd omwezi guno.

Ate abalala 4222 balemeredwa okugondera etteeka era fayiro zabwe zasindikibwa dda eri akakiiiko akavunanyizibwa kukukangavula abemitwe eminene

Bano bakufuna ebibonerezo omuli okugobwa mu yafeesi, okuwumuzibwa obutasasulwa musaala okumala ebbanga ne birala

Wangadya anyonyodde nti yaffeesi ya pulezidenti, minisitule ya gavt ezebitundu, akakiiko akavunanyizibwa ku bakozi ba gavt, ekitongole ekiramuzi, yafeesi ya kaliisoliiso wa gavt ne minisitule eye byenjigiriza beebamu kubakoze obulungi mu kwanja ebyobugagga byabwe.

Ate ebibiina ne bitongole ebyakoze obubi kuliko, ekibiina kya Uganda People’s Congress party, Forum for Democratic Change, Justice Forum, Uganda heart institute, National Unity Platform, nabaddukanya ekisaawe kya Mandela National Stadium kko ne birala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *