Amawulire

Abakozesa Balabuddwa ku kugema abakozi COVID-19 okw’obuwaze

Abakozesa Balabuddwa ku kugema abakozi COVID-19 okw’obuwaze

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa

Ekibiina ekigatta abakozesa, Federation of Uganda Employers (FUE) balabudde amakampuni ku kuteeka abakozi baabwe ku nninga okwegema ekirwadde ekya senyiga omukambwe COVID-19.

Bino webijidde ngabalwanirizi be’dembe lyobuntu bazze bavumirirra ekikolwa kino.

Ssenkulu wekitongole kino Daglous Opio atubuliidde nti abakozesa batekeddwa okukimanya nti kimenya amateeka, era kyandibatuusa awazibu.

Ono awabudde nti basaanye kubasomesa bbo bennyini nebewaayo okubagema kyeyagalire.

Mungeri yeemu, bbo abamu ku bakulembeze babakozi bagamba nti waddenge ssi kirungi naye yeemu kun kola eyinza okuyitwamu okulwanyisa okusasana kwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Sentebbe owa National Organization of Trade Unions (NOTU) Usher Owere yayanukudde ku nsonga eno.

Mu kiwandiiko ekyawereddwa abakozi ku Victoria University, abakozi balagiddwa okwegema oba ssi ekyo emirimu gyabwe baakujifuuwa mu ngombe.

Kati Owere agambye nti waddenga okukaka abakozi okugemebwa ssi kirungi, naye okugemebwa kirungi.

Olunnaku lwe’ggulo minisitule yebyobulamu yatandise okugema aokwekikungu ku kisaawe e Kololo.