Amawulire

Abagenyi abasoba mu 4000 bakwetaba mu Kulayira kwa Museveni

Abagenyi abasoba mu 4000 bakwetaba mu Kulayira kwa Museveni

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Minisita avunanyizibwa kunsonga zomukulembeze weggwanga Esther Mbayo agamba entekateka zonna ziwedde ezokulayiza pulezidenti Museveni ku kisanja kye ekyomukaaga.

Omukolo gwakubeera ku kisaawe e Kololo ngennaku zomwezi May 12th.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Mbayo agambye nti abagenyi abayite abagenda okwetaba ku mukolo guno bali 4,042.

Wabula omuwendo guno gukontana ne biragiro ebyayisibwa mu kulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, ebiragiro biraga abantu abatasoba mu 200 okukungana mu kifo ekimu.

Mbayo, era ategeezeza nga Museveni bweyayise abakulembeze bamawanga 42 okwetaba ku mukolo era 21 kubo bakakasiza dda nga bwebagenda okugwetabako.

Wabula anabakulembeze bawano pulezidenti beyavuganya nabo mu kalulu okuli Robert kyagulanyi ne banne bayitiddwa, na bakulembeze 17 okuva mu buli disitulikiti, bannaddiini, na babaka ba palamenti abalonde bayitibwa.

Okusinzira ku byalangirirwa akakiiko ke byokulonda mu kulonda okwaliyo mu mwezi ogwa gatonya Museveni ya wangula banne bwebaali mu lwokaano lwa pulezidenti ne bitundu byobululu 58.38%.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *