Amawulire

Abagaala okulaba paapa basuleyo- E Kenya lunaku lukulu

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Abakulisitu abaagala okulaba ku paapa basabiddwa okugenda basule ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo ku lwokutaano nga 27 basobola okulaba ku mulangira w’ekeleziya obulungi enkeera ku lwomukaaga.

Bwana Mukulu w’ekigo ky’e Namugongo  Vicent Lubega wabula akubirizza bonna abagenda e Namugongo okwesibira entanda nga emmere nebyokwebikka kubanga tewagenda kubeera byakulya munda mu kiggwa.

Abo abatasobole kusulayo basabiddwa okukeera enyo nga ssaawa 3 tezinawera.

Yo ku muliraano e Kenya abaayo balangiridde lwa nga 26 November nga olunaku lw’okuwummula mu ggwanga lyonna.

Olunaku luno lwakukozesebwa okusabirako eggwanga nga Paapa Francis akyaddeko mu ggwanga lino.

Paapa Francis wakusookera mu Kenya nga tanaggya kuno ku lwokutaano.