Amawulire

Abafunye akabenje bakyaali bubi

Ali Mivule

October 16th, 2013

No comments

Truck in accident

Abantu basatu  ku abo  24 abafunye ebisago mu kabenje ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Bushenyi bakyali mu mbeera mbi ddala.

Kuno kuliko  Rita Nasaasira, Fred Mugarura ne  Brian Akankwasa eyafunye ebisago ebya manyi ku mikono n’amagulu.

Bano babadde mu baasi ye’kika kya Isuzu eyayambalaganye ne lukulunana ya kampuni ya cocacola eyabadde yetisse sooda.

Adumira poliisi ye Bushenyi  Hilary Kulaigye agamba okuonyereza ku kabenje kano kukyagenda maaso.

Akabenje kano mwafiriddemu ttaniboyi wa lukululana  eyategerekese nga  John Ngabirano.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *