Amawulire

Abaddenga alimira enjaga ku bbaati bamukutte

Abaddenga alimira enjaga ku bbaati bamukutte

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Agambibwa okuba nti abaddnga alimira enjaga ku mabaati poliisi emukutte.

Meddie Mugerwa omutuuze mu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe yakwatiddwa poliiise ku Kaleerwe oluvannyuma lwabatuuze okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati.

Poliisi ngekulembeddwamu omumyuka wa OC, Twahir Kasembeza ezze nemukwata, nga bamusanze nenjaga ne bagiwanulayo ku mabaati.

Mu kwewoozako Mugerwa agambye nti ya mutabani wa nnannyini mayumba, waddenga oluvannyuma akkiriza nti agikozesa ng’eddagala ly’enkoko.