Amawulire

Abadde yabula omulambo guzuliddwa Entebbe

Abadde yabula omulambo guzuliddwa Entebbe

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi eriko omulambo gw’omuntu gwenyuludde okuva mu Nyanja Nalubaale mu bitundu bye Entebbe.

Omugenzi ategerekese nga ye Simon Akena owemyaka 34, era abadde mutuuze we Mukono.

Ono kigambibwa nti abadde yabula nga 14 omwezi guno ogwomwenda nga yasemba okulabwako mu bitundu bye Ntinda ne Kisaasi.

Omulambo guno gujiddwa ku mwalo gwe Kitubulu mu tauwni kanso ye Kitabi mudistrict ye Wakiso.

Omwogezi wa poliisi mu Kmapala nemiriraano Patrick Onyango akakasizza bino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *