Amawulire

Abadde abba sente zabba kati alya muddo na ttaka

Abadde abba sente zabba kati alya muddo na ttaka

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2019

No comments

Bya Kirunda Abubaker, Abatuuze b’e Nabilele-Buyodi mugombolola y’e Namugongo mu disitulikiti y’e Kaliro beerabidde kateemba atali musasulire omukazi abadde yegumbulidde omuzze gw’okubba sente za bba bwatandise okulya omuddo ne ttaka.

Irene Nabirye kigambibwa nti aludde nga abba ensimbi zabba Peter Batwaula.

Batwaula yagenze ku ndagu gyeyagye eddagala lyeyawadde ab’omu makage oluvanguma lwa buli omu okwegaana nti siyabba sente, olw’amaze okulinywa baalabide awo ng’omukyala w’omu maka atabuka nga akaaba ng’ebisolo n’atandika okulya omuddo ne ttaka.