Amawulire

Ababba Ebigezo Baakugobwa

Ababba Ebigezo Baakugobwa

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye, Ivan Ssenabulya ne Juliet Nalwoga

Ministry eyebyenjigiriza nemizannyo erayidde nti yakussa abakulu bamasomero bonna, abenyigira mu kubba ebigezo.

Kino kidirdde ekitongole kyebigezo ekya Uganda National Exanimations Board okutegeeza nti waliwo abakulu bamasomero, abenyigira mu kukoppa nokuyambako abayizi.

Kati minister owebyenjigiriza ebisokerwako Rosemary Sseninde ategezeza nga bwebajja okugoba abasomesa bano, nabamu okubassa mu madaala.

Wano era alagidde abakulira ebyenjigiriza muzzi district ezenjawulo nobukulembeze bwazi gavumenti ezebitundu okufaayo ennyo okulondoola abkulu bamasomero bonna.

Ate abakugu mu byenjigiriza awabudde kungeri yokulwanyisaamu ebikolwa ebyokubba ebigezo.

Bino webijidde ngebigzo bya PLE 3,500 byebyakwatiddwa, bikyanonyerezebwako nga kigambibwa baakoppa.

Okusinga ekitongole kyanokoddeyo okukoppa okwoyamba abayizi, okubawa answer nengeri endala.

Kati munabyangiriza Patrick Kaboyo agamba, kyetagisa okusaawo enkola egobererwa eri abasomesa oba teacher policy ngatagoberedde ebyamulambkirwa yakangavvulwa.

Agamba kino kyokka kyekijja okuyamba.

Ate omwogezi wekitongole kyamakomera agamba nti balina obusobozi obusomesa abasibe abawerako, ssinga gavumenti ebongera ku nsimbi.

Ono okwogera bino abadde ayanukulula ku bigezo byekyomusanvu ebyakolwa omwaka oguwedde, ebyafulumye.

Eno abayzi 73 bebatuula okuva ku 68 abatuula omwaka ogwayita 2017.

Baine agamba nti wakyaliwo obwetaavu.

Mungeri yeemu abobuyinza mu district ye Mukono basabiddwa, okuwangamu nabasomesa okusbola okunogera eddagala ebizbu ebiri mu byenjigirrza, ateera byebasanga ngabasomesa.

Okuwabula kuno kukoleddwa meeya wa munispaali ye Mukono George Fred Kagimu, ngono ategezeza nga kino bwekiyamba era okumanya ebizbu ebirwo.

District ye Mukono yakutte kya 3rd nga Wakiso yeyasinze negobererwa Kampala.

Ono era alaze obwetaavu okwongera amanyi mu kulondoolanga amsomero.

Mukono yafunye 1st grade 3,692 ne 2nd grade 7,954, atenga Kwen ne Amudat bebasinze okukola obubi.