Amawulire

Ababaka bakaaye ku bukadde

Ali Mivule

April 25th, 2013

No comments

mps on money

Omubaka akiikiriira abe mUkono, Betty Nambooze ensonga z’obukadde obutaano azitutte mu FDC

Nambooze ategeezezza nga bw’agenda okuloopa eri akulira FDC Mugisha Muntu nga yeemulugunya ku bakulira obukiiko mu palamenti okuva ku ludda luvuganya

 

Kiddiridde abavuganya abawera okugaana kuzza bukadde buno obutaano obwaweebwa ababaka okwwebuuza ku bantu ku bbago ly’etteeka ly’amaka n’engeri y’okwawukanamu

 

Ababaka abawerera ddala 20 okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beebakazaayo obukadde obutaano obwaali obwekwebuuza ku bantu ku bbago ly’etteeka ly’amaka

 

Ababaka bano kwekuli akulira abavuganya Nandala Mafaabi, Wafula Oguttu, Ssemuju Nganda, Mathis Mpuuga, Betty Nambooze n’abalala

 

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Nganda ayongedde okusaba ababaka abalala okuzaayo ensimbi zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *