Amawulire

Ababaka bagenda Canada okulaba ennyonyi Uganda z’egenda okugula

Ababaka bagenda Canada okulaba ennyonyi Uganda z’egenda okugula

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akakiiko ka palamenti akebyokuzimba, kaakubitekamu ebiraato kolekere mu gwanga lya Canada okulambula kampuni ya Bombardier Aircrafts, ekola enyonyi nga tebanatuusa nyonyi Uganda zeyatumya kika kya CRJ900.

Ono yoomu ku kawefube wokuzikusa kampuni ya Uganda Airlines.

Omwaka oguwedde gavumenti yatekayo obuguzi bwe nyonyi zino, ku bukadde bwa $ 190.

Kinajjukirwa nti wiiki ewedde ministry yebyensimbi, yatekayo okusaba kwenyonyereza kwa buwmbi Shs 280 okusubola, okutuusa enyonyi 2 ezisooka.

Kati ssentebbe wakakiiko kano, omubaka we Nakifuma Eng. Robert K. Ssekitoleko agambye nti olugendo lwabwe luno, lugenrereddwamu kukakasa mutindo gwa nyonyi zino.