Amawulire

Ababaka ba NRM beevumbye akafubo.

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.

 

Amakya ga leero ababaka banna kibiina kya NRM lwebasuubirwa okwetaba mu kabondo kaabwe , bakaanye ku ngeri gyebagenda okwebuuza ku bantu ku nsonga ey’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Twogedeko n’amyuka Nampala wa NRM Solomon Silwany  n’agamba nti ababaka bonna aba NRM wamu nabatalina kibiina wabula nga besigamye ku NRM nabo basubirwa okwetaba mu kafubo kano akagenda okubeera wano ku office ya ssabaminister.

Ono agamba nti ekibayisiza kw’ekukaanya ku dobbozi ely’awamu ly’ebagenda okutambuza mu bantu.