Amawulire

Ababaka ba CPA bakubaganyiza ebirowoozo ku bbula ly’emirimu

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Ababaka ba palamenti abakikirira abavubuka mu kibiina omwegatira ababaka ba palamenti mu mawanga agaaliko amatwale ga bungereza baliko empenda ze batemye mu kulwanyisa ebbula lye mirimu eri abavubuka.

Mu lukiiko olw’akubirizidwa amyuka sipiika Jacob Oulanya ababaka bakkiriziganyiza bukuyege nti ebbula ly’e mirimu mu bavubuka ku kyali kusomozebwa kw’amaanyi era kigwanidde okukwatira awamu okulivunuka.

Bano basabye eby’ensoma bikolebwemu ennongosereza abayizi bateeke essira ku masomo g’eby’emikono kisobozese okwongera okutondawo emirimu.

Bano mungeri yemu bagala abavubuka abalina ebiyiiye bye bavudeyo nabyo batekebwemu ensimbi okusobola okututumula business zaabwe.

Ebiteeso bya babaka mu kumalawo ebbula lye mirimu byakutwalibwa mu lukiiko lwekibiina kyamawanga amagatte olwa UN assembly babikubaganyeko ebirowoozo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *