Amawulire

Abaana balwala obulwadde bw’okufuyisa olwe’bbula lya’mazzi

Abaana balwala obulwadde bw’okufuyisa olwe’bbula lya’mazzi

Ivan Ssenabulya

September 25th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses

Alipoota zabatwala ebyenjigiriza mu district ye Napak ziraze nti abaana abakunukiriza mu 100, bakoseddwa ebirwadde bya Urinary Tract Infections UTIs wabulanga kyava ku bbula lyamazzi, eryaliwo omwaka oguwedde.

Akulira ebyenjigiriza mu distrit District Joyce Nakoya agambey nti olwe bbula lyamazzi, abaana tebasobola kunaaba nga bwekyetagisa mu budde, nebalyoka babuka nebirwadde.

Bino webijidde nga ekitongole kya United Nations Children’s Fund naba Korea International Cooperation Agency batandise polojekiti gybatuumye Water, Sanitation, and Hygiene nga batuusa amazzi amayonjo mu masomero 100 agali mu districts eziri mu ttundundutundu lye Karamoja.

Nakoya agambye nti abaaana absinga bava mu ssomero lya Matanyi Primary school.