Amawulire
Abaana babiri bafiridde mu nyumba e Jinja
Bya Abubaker Kirunda
Abaana babiri bafudde ekiziyiro, munda mu nyumba.
Enjega eno ebadde ku kyalo Kyamagwa mu kibuga kye Jinja, mu divizoni yamabuka.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira, Abbey Ngako agambye nti bano babadde bakozesa Amanda okufumba amatookemunda mu nnyumba.
Kino kyavuddeko ekikka, abaana nebaziyira nebafa, nga kigambibwa nti babadde babeera ne jajja wabawe Fauza Alitubera nga naye yasangiddw angaliko kikuba mukono.
Abagenzi kubaddeko owemyaka 2 ne mukulu we, owemyaka 12.