Amawulire
Abaana 30 banunuddwa
Poliisi ye Mbale eriko abaana abasoba mu 30 benunudde okuva mu maka agamu gyebabasibira okusoma ediini.
Abaana bano kigambibwa nti bajiddwa ku bazadde baabwe mu bitundu bye Sironko, Bulambuli ne Mbale okubayigiriza enjiri okuva mu mwezi ogwokubiri omwaka guno.
Omu ku balwayisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino Thomas Nambale ategezezza nga babadde balambula amaka ku nsonga z’obuyonjo nebagwa ku baana bano mu maka Francis Gibenya.
Kigambibwa nti abaana bano bakakibwa bazadde baabwe okuva ku by’okusoma bagende bayige enjiri.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Diana Nandaula akakasizza kino n’ategeeza nga bwebagenda okulondoola bazadde b’abana bano bavunanibwe.
Bbo abagoberezi b’enzikiriza y’enjiri bagamba eddiini yaabwe tebakkiriza kutwala baana ku masomero.