Amawulire

Abaali abakozi ba MTN nate gubasinze

Abaali abakozi ba MTN nate gubasinze

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Abaali abakozi mu kampuni ya MTN-Uganda 6 nate bawanguddwa omusango gwokujulira mwebabadde bawakanyiriza ekyokubansingisa omusango.

Nga 28 mu April womwaka gwa 2015, omulamuzi wa kooti enkulu Paul Mugamba yasingisa abantu bano emisango gyobufere, bwebabbanga ssente zaba kasitooma eziri mu buwumbi 3 okuva ku accounta za Mobile.

Abavunanwa kuliko Edirisa Serunkuma, Edgar Matovu, Joseph Magombe, Peter Ayebare, Danny Segujja ne Irene Kauma nga baweebwa ebibonerzo byakusbwa myaka 7 emyaka 9 olwokwekobaana okubulankanya ssente zabantu.

Wabula baddukira mu kooti ejjulirwamu, naye abalamuzi ababadde bakulembeddwamu omulamuzi Elizabeth Musoke bakanyizza nti obujulizi bwebaleese tebumatiza okukyusa ennamula ya kooti enkulu.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano batulaanga nobufofo, mungeri yokwekobaana okusobola okuzza emisango gino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *