Amawulire

Aba somali bagobeddwa e Kenya

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

Kenya attacks

Eggwanga lya Kenya liwemukidde aba somaali nerigoba abawerera ddala 82 oluvanyuma lw’okutongoza ekikwekwero ekigoba abayingira mu ggwanga lino mu bukyaamu

Abagobeddwa bonna baali bayingira eggwanga mu bukyaamu

Bbo abali mu 4000 bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu kibuga kya Kenya ekikulu Nairobi yadde nga poliisi egamba nti abakyaali mu mikono gyaabwe bali 447.

Bannalukalala enzaalwa ye Kenya bakoze obulumbaganyi obutali bumu ku Kenya okuva mu mwaka gwa 2011